Original

Download as docx, pdf, or txt
Download as docx, pdf, or txt
You are on page 1of 10

OBULAMU BW’OMUGENZI

HAJAT MAYIMUNA NAKITENDE


1944 – 2022
HAJAT MAYIMUNA NAKITENDE YAANI?
Hajat Mayimuna Nakitende, muwala wa Sheikh Muhammad
Ssemakula (Former Mufut) e Buyenga mu’Butambala muzzukulu
wa Ggugwa Ibrahim Musoke eKawempe.
Omukadde azzala Hajati Mayimuna Nakitende ye Hajjat Mariam
Nakalema muwala Sheikh Mugenyi Asooka eKyegonza- Gomba.
Era muzzukulu wa Asuman Wagumba- Kyegonza Gomba
yazzalibwa 1944 – 2022 afudde nga wamyaka 78. Yazalibwa ne
banne abalala abawerako omuli;
1. His excellence Ambassador Sheik Amin Mutyaba
2. Hajji Ibrahim Ggugwa
3. Sheikh Uzail Musoke
4. Hajji Luyombya (London)
5. Hajat Sarah Nalweyiso
6. Katende yakuba (late)
7. Hajj Hamza Ssekiwunga – Sweden
8. Salima munyango (late)
9. Nakabuye Alizik
10. Mukyala Tambula
11. Mr Ssemwogere Said
12. Mr Lukman Ssemakula
Nabalala abawerako
Hajjat Mayiuna Nakitende yasomesebwa Taatawe mwenyini
awaka e Queran nga aliwamu n’omugengenzi Hajji
Muhammadi Wamala Takuba nga bamaliliza Quaran,
bombiriri batwaalibwa Kabasonde Primary school eyo
jeyava nafumbirwa ewa Hajji Zakalia Ssali 1963. Era eno
obulamu bwe bwonna jabumalidde. Kino kitegaza obulamu
bwa Hajat ayimuna Nakitende obusinga yabumeze ali
n’abekika ky’enkima ewa Hajji Zakalia Ssali mutabani wa
Hajji Yunus Kikulukunyo. Basseso ne banyabo abasomi
bomuloya Yonus Kikulukunyo omuva Hajji zakalia Ssali
eyali bba wa Hajjat Mayimuna Nakitende.
KIKULUKUNYU YUNUS
Ono mwana wa Yusuf Kawagga ne Mukadde
Zzirimuzaawo. Yyatula ku mutala kalamba Butambala.
Yusuf Kawagga yalina abakyala basatu (3) okuli Mulasi
Nazziwa Njejebe, Zzirimuzzaawo ne Sauda Bakumba.
Mubakyala be banno Allah yamuweramu ezadde lino
wamanga;

1. Yunusu Kikulukunyu – Kasana – Kabasanda

2. Hassan magala Kafeero Muswayiri nzozibirye –


Butambala

3. Twahili Lule Kalamba – Butambala

4. Alli Lubanyi Kalamba – Butambala

5. Juma Kasozi Kafeero Kabasanda – Butambala

6. Hamisi Ssali Kalagala – Butambala

ABAANA BA YUNUSU KIKULUKUNYU

Kikulukunyu mwana wa Yusufu Kawagga ne mukadde


Zzirimuzaawo. Muzzukulu wa Galiibwa eyaberanga
kumutala mbizzinya era kweyazikibwa. Yunus Kikulukunyo
ne mukyalawe Mariam Mawemuko Banjisibano Allah
yabawa ezadde elyabaana bana (4) banno wamanga;

1. Hajji Jamada Musoke – omusiika (late)

2. Hajji Zakalia Ssali (late)

3. Hajjat Daliya Nakafeero (late)


4. Hajji Khalid Tamale (late)

Hajjat Mayimuna Nakitende muwala wa Sheikh Muhammad


Ssemakula ebuyenga Butambala. Hajjat mayimuna
Nakitende yafumbirwa mu family enene era engazi.
Tumwebazza olwobuwerezzabwe obulungi. Yawerezza
baababe abanji neba Ssezzalabe abaaliwo mukaseera ako,
abaana nabazzukulu abenjawulo.

Yali Sheik Abdul Aziz Ssematimba owe Buyenga


Butambala Taata wa Hajji Ibrahim Kizito eyabaguliza
kumunywanyiwe Hajji Zakalia Ssali kumukisa ogwaliwo
mukuwasa Hajjat Mayimuna Nakitende muwala wa Sheikh
Muhamad Ssemakula eyali musaanjiwe.

Embaga ya Hajji Zakalia yategekebwa baTaatabe okwali


Hajji Yunus Kikulukunyo, Hajji Twahili Lule, Hajji Kasozi
Kafeero, Hajji Ali Lubanyi n’e Hajji Hamis Ssali wamu
n’eKojjawe Hajji Haluna Nkalubo.

Embaga yaali mukiiddala ekyensansa era abagenyi


babagabula chai wamata n’emberenge entulise. Hajji
Abdulkheri Kamulegeya yeyavuga abaagole mu Ford
contina wamu n’e Hajji Yusufu Wasswa Kawagga mu Land
Rover n’e Hajji Yunusu Mukiibi mu Lorry Tender.
OBUBAKA OKUVA MUKIKA KYENKIMA HAJJAT
MAYIMUNA NAKITENDE MWEYAFUMBIRWA.

1963 – 2022.

Hajjat Mayimuna Nakitende Allah yamuwa ezadde lya’baana


munaana.

1. Nakanjako Aisha
2. Nassali Nahya (omugenzi)
3. Nanyunja Amina
4. Nalukwago Madina
5. Mawemuko Mariam Talikomunne
6. Nanyunja Mastula Ssali
7. Namuli Sofiya
8. Zaam Kiwagalo

Obufumbo buwerezza era Hajati Mayimuna Nakitende


yabutukirizza.

Okusooka kwa byona twebaza Allah eyasobozesa omugenzi Hajji


Zakalia Ssali okuwaasa mu Family enene eyomugenzi Sheikh
Muhammad Ssemakula mutabani wa Sheikh Ggugwa: Hajjat
Mayimuna Nakitende yatendekebwa mubusiramu era nasiigala
nga mukyala musiiramu. Embeeraze n’ebintu bye byona ebirungi
n’ebibi yabikwasa nga Katondawe. Yaweereza nyo obusiiramu
bulirunaku abaddeenga asoma Quran n’okuyimirizawo eswala 5
neza sunna.

Abadde awaayo nyo kunsonga z’obusiiramu era nga alina


emikeeka jabadde awaayo mumizikiti wamu nokutekateka
abaanabe bonna mumukuluulo gw’obusiiramu era alese abaanabe
bonna nga bali mubufumbo obuli mumateeka gobusiiramu.

Hajjat Mayimuna Nakitende yayaagala nyo baawe omugenzi


Hajji Zakalia Ssali era yamuwereza obulamu bwe byona.
Yalimanga emeere n’enva ebyakolanga awaka nokufumbira
abantu bomu tawuni ye Kabasanda.

Emikeeka jeyalukanga sente ezavangamu nga aziwa bbawe


nayongerezako ku School fees zabaana babwe. Yajanjaba nyo
omwamiwe awaka n’emuddwaliro. Kino kyali bwekiti kubanga
yeyali omukyala omuto eyali akyalina amanyi. Hajji Zakalia Ssali
yatuka kufa mu 1992 nga Hajjati Nakitende Mayimuna
yemujanjabi omukulu.

Yali mukyala wansonyi era owegonjebwa, yafumbirwa mu family


nga nene nyo mweyasanga bakulube, Hajjat Nagaddya Khadija
n’e Nalongo Safina Namatovu. Naye omukyala ono yabeerawo
burungi n’ebane. Teyaberako muntalo ebanga lyonna. Yali
mukyala wamirembe.

Baganda bamwamiwe bonna (bbabaabe) abakulu nabato


yabawanga ekitibwa.Abadde mukyala wansa nyo okuba nga
nabaamibe beyasanga nga bato nyo nabazalibwa ngawali bonna
ngabayita “Nyinimu”. Hajji Zakalia nga amaze okufa mu 1992,
yasonda senteze nazimba e Nakirebe naye teyavawo buvi,
yagenda ewa Hajji Khalid Tamale namusaba agende awumulireko
enakirebe era yamala kukirizibwa okuva e’Kabasanda.

Hajjat Mayimuna Nakitende yali mujjumbize kumirimu gya


Family ne gyekyalo era yali ayagaliza buli muntu era enkola eno
yagiteeka ne mubaanabe bonna.

Tusaba era netuwanjagira Allah nanyini buyinza era omusaasizi


asasire Hajjat amuwe ejjana firidaus.
OKWAGALA BANTU BANNE.

Hajjat Mayimuna Nakitende yayagala nyo abantube abolugave


nabenkima yakyaza nyo abaamibe, abolugandalwe, abaana be
nabazukulu, buli mugenyi yamwanirizanga ela tewabadde
mugenyi akyaddeko ewuwe namulesa ekyokulya oba ekyokunya.
abadde mukyala mugabi nyo nga nolusi okwatibwa ensonyi nga
olaba gwewandibadde owa ate yakuuwa.

ABAZZUKULU KYEBOGERA KUMUGENZI.

Nga bakulembedwa Hon. Faisal Ssali Kikulukunyu, bagamba


ebigaggu balidde bingi ela tabibaleseza, abadde abagala nyo naye
nga ali strict/ abadde alemelako kukigambo mpisa ne diiniye
naddala kigambo swala.

bongerako nti abadde mukyala amanyi eddini ye nebigambo


ebikwata kuddini busiraam. basabye Allah asaasire nyo jjaja
wabwe ebyamusobako ela asinzire kumirimu emilungi amusasule
musera ela amusoyiwe nebibi ebyamusobako.

ABAANA

Hajjat Mayimuna abadde muzadde mumpya nyingi ela abadde


nabaana banji. Eddobozi lyabaana bonna nga bakulembedwamu
Ssenkulu Hajji Abdunoor Ssekiziyivu bamwogeddeko nga abadde
omwetoowaze, omumalirivu mubuli kyabadde akola ela
yakubiriza nyo abaana be nabantube okubeera abakozi ela
abagumikiriza Aisha Nakanjako omwana womugenzi omukulu
agamba nti enjiri yobuguminkiriza maamawe kwafiridde,
kubanga olumbe lumulumye nyo naye tayogedde kigambo
kyonna kimalamu bantube manyi.
ABAAMI BE KYEBAGAMBA.
Banno nga bakulembedwamu Hajji Abasi Lukwago bagamba
Hajjat abadde muwulize nyo gyebali bamujjukirako empisa
nebijjulo ebyesava byabadde abagabila, tujja mujjukiranga nyo
ela tujja musubwa.
OBULAMU BWO’MUGENZI E NAKIREBE 1995-2022

Hajjat Mayimuna Nakitende yasenguka okuva e Kabasanda


nadda e Nakirebe 1995. yasooka kuzimbawo makage nasalawo
ajje awumulireko awo oluvanyuma lyo’kufa kwa baawe hajji
zakalia ssali. ekitundu teyakisangako muzikiti ela yasala ku
takalye naliwayo nebazimbako omuzikiti naye mwabadde asaalira
nabantube, abadde ateekamu emikeeka ela yagulirako ne tanka
eya mazzi, nga omukyala eyazalwa mumaka amasiiramu,
eyasomezebwa e diineye ate nga ela yafumbirwa mumaka
agamanyi obusiramu, yakumakuma abantu bomukitundu
okujjumbira obusiramu naddala okuyimirizzawo eswala etaano,
okusiiba ela yava wanno e Nakirebe okulamaga olugendo
olutukuvu olwe makka ne madina. ela awo e Nakirebe yasangawo
jjajawe Musa Ssempagala bwebali bazalibwa no’mugenzi jjaja
Nakabuye aliziki maama wo’mugenzi Sheikh Muhammad
Ssemakula.

OBUBAKA OBWEBAZZA.

nsaba munzikirize ntuuse obubaka obwebaza eli abantu


abenjawulo.

Twebaza nyo aba family y’omugenzi Ggugwa Ibrahim


olwokulambula nga omwana wabwe Hajjat Nakitende Mayimuna
wadde nga abadde mujkyala mukulu mumyaka. Afiridde
kumyaka 78 (1944-2022)
Twebazamu akensuso abaana be abamujjanjabye enyo omuli
nokuleetanga eddagala okuva e Bulaya. Amina Nanyuja ne
Mawemuko Mariam babaddenga bava e Bulaya (London ne
Milan)
okujjanga okulaba nokumuletera obujanjabi obwenjawulo.
Nakanjako Aisha ne Nanyunja Mastula baabadde abeera nabo
okumpi, bamujanjabye nyo nabo omuli okumuyonja nga
bamusuza wayonjo, okwooza engoyeze nomufumbiranga emere
ne chai.
Ela twebaza mungeri eyenjawulo muzzukulu we (mutabani
womugenzi Nassali Nahya) HUSSEIN KIGGANIRA abadde
omusaale mukujanjaba jjajawe nga amutwala mu malwaliro
agenjawulo, okumugulira eddagala nokumusuzza ebanga
elisembyeyo mumakage e kawempe olwensonga yabasawo nga
bagaala ababeerenga kumpi. obuvunanyizibwa bunno Hussein
abukozze mpaka ku ssawa esembayo. tumwebazizza nyo wamu
neba maama be ne mukyalawe olwokwerekereza nga bajjanjaba
maama.

Tutusa okwebazza kwaffe eri Dr. Ishaque Musoke owa Kyadondo


Hospital olwobujjanjabi bweyatuusa kumugenzi nga akyali
mulamu.
Twebaza Hajji Muguluma Twaha, Hajji Yunus Kamulegeya, Hajj
Abdunoor Ssekiziyivu, Hajj Buzindadde Muhammad ne’Sheikh
Sufian Muguluma olwokukunga banaabwe mukulabilira
nokujjanjaba omugenzi.
Twebaza nabantu bonna abatuwaanga obuyambi obwenjawulo
omubadde no’kulambula omulwadde. Tusaba Allah mwenna
abasasule musera nomugenzi Allah amuwe ekiwumulo ekye
mirembe.
Nga maliriza kubigambo bya hajjat waffe, eddobozi lyawamu
ligamba tujja musubwa nyo ela fenna tusaba Allah asasire
mukyala / maama / jjaja waffe amuyingize ejjana firidaus asobole
okusanga abantu abaweereza obusilamu.

Compiled by: Hajji Tamale Ahmed

You might also like