0% found this document useful (0 votes)
51 views

ST CECILIA CHOIR

Uploaded by

judessemiyingo64
Copyright
© © All Rights Reserved
Available Formats
Download as DOCX, PDF, TXT or read online on Scribd
0% found this document useful (0 votes)
51 views

ST CECILIA CHOIR

Uploaded by

judessemiyingo64
Copyright
© © All Rights Reserved
Available Formats
Download as DOCX, PDF, TXT or read online on Scribd
You are on page 1/ 13

MASS PROGRAM FOR THE THANKSGIVING MASS IN MUYENGA

ANIMATION BY
ST CECILIA CHOIR KIYINDA, MITYANA CATHEDRAL PARISH

ENTRANCE MUJJE TWEBAZE OMUKAMA

MERCY YRIE – ALEX SSENNOGA

GLORY GLORIA – JUDE NAM

MEDITATION NNAATENDANGA OMUKAMA

GOSPEL ALLELUIA - mutendereze Omukama

AFTER GOSPEL YEEBALE NNYO YEEBALEGE

OFFERTORY NZE NADDIZA KI OMUKAMA

NITAKWENDA

HOLY HOLY – NAMUGONGO

LAMB AGNUS – OSINDE

HOLY COMMUNION OMUGAATI GW’OBULAMU

BREAD OF LIFE

POST COMMUNION NDISIIMISA KI NZE OMUKAMA

EXIT KATONDA YEEBALE

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 1


MUJJE TWEBAZEOMUKAMA
REFR: Mujje twebaze Omukama, akola eby’amagero,

Mujje twebaze Omukama (mwenna)

Y’Oyo ow’ekisa asinga

1. Erinnya ly’Omukama muliyimbe………………….. asaasira Mukama asaasira


Mmwe abantu b’ensi eno mumutende………… asaasira Mukama asaasira
owaffe.

2. Katonda bye yakola bya kitiibwa ………………… “


Eggwanga lye Mukama y’Aliyamba……………... “

3. Alamula Mukama wsa Buyinza………………………”


Akkakkanya abalabe ng’abatowaza………………. “

4. Mmwe ab’amawanga mugulumize ono…………”


Ettendo lya Mukama muliyimbe……………………”

5. Ankuumira obulamu ng’abutaasa………………….”


Annambika ebigere ng’abinyweza………………….”

6. Watugeza ayi Ggwe Omulungi………………………..”


Ne tukirako feeza , mu kabiga…………………………”

7. Mbanyumiza Mukama mmwe abalungi………….”


Omwoyo gw’omunaku y’akuyamba………………..”

8. Ngulumiza Mukama ono omulungi…………………”


Atangobye Mukama bwe mmusenze………………”

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 2


GLORIA IN EXCELCIS DEO

BASS: Gloria in excelcis Deo x3

SOPRANO: Gloria in Excelcis Deo x3


In excelcis Deo
Gloria in excelcis Deo x3

1. Et in terra pax hormnibus, bonae volutantis.


Laudamuste benedicimuste;
Adoramuste, glorificamuste,gratius agimus tibi,
Propter magnum gloriam tuam.
Domine Deus (bis)
In excelcis Deo!

2. Rex caelestis, Deus pater omnipotens.


Domine fili unigenite, Jesu christe.
Domine Deus
In excelsis Deo!

3. Agnus Dei, Filius patris Qui tollis peccata mundi,


Miserere nobis, Qui tollis peccata mundi
Suscipe, Deprecationem nostram,
Qui sedes ad dexteram patris,
Miserere nobis (bis)
In Excelcis Deo!

4. Quoniam tu solus sanctus,


Tu solus dominus tu solus altissimus
Jesu Christe cum sancto spiritu,
In Gloria dei patris Amen.

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 3


NNAATENDANGA OMUKAMA

Chorus: Nnaatendanga Omukama obudde bwonna


Nnaatendanga Omukama obudde bwonna
Nnaatendanga Omukama, emirembe gyonna nze

1. Nnaatenderezanga Omukama obudde bwonna, ettendo lye mu


kamwa kange bulijjo
Omwoyo gwange gwenyumiriza mu Mukama, abeetowaze bawulire,
basanyuke.

2. Mugulumize wamu nange Omukama: tusukkulumize wamu erinnya


lye eryo,
Nnanoonya Omukama era nanziramu, ye yamponya na byonna bye
nnali ntya nze.

3. Mutunuulire gy’Ali mulyoke musanyuke mmwe , amaaso gammwe


galeme kuswala
Kale omunalu yalaajana Omukama naye n’Aawulira, era n’amulokola
mu byonna
ebyamuli obubi

4. Malayika w’Omukama yakuba ensiisira ye, okwetooloola abamutya


n’abawonya bonna
Mulegeko mulabe Omukama nga bw’ali omulungi, omuntu
amweyuna yeesiimye.

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 4


YEEBALE NNYO YEEBALEGE

Chorus: Yeebale nnyo Yeebalege, Katonda yeebale (yeebale nnyo)

Yeebale nnyo yeebalege, Katonda yeebale

1. Tufunye amawurire ag’essanyu, Katonda


yeebale
Tufunye amaanyi ag’enjawulo, Katonda
yeebale

MUJJE MUWULIRE

1. //Mujje muwulire, mujje muwulire abange// Mure abange Mukama


Katonda by’Akoze
Enkumu , nze nja kunyumya, nze nja kunyumya ebinene by’Akola
Katonda
Nze nja kunyumya, nze nja kunyumya by’Akolera omwoyo gwange
nze nja kunyumya.
Nga bikuuno Mukama Katonda by’Akoze!

2. Mujje mbanyumize (bikuuno bye!) Mukama Katonda yampulira


n’amponya mu gulumiza nnyo, eyampulira mazima Katonda na kati
muwaana, sirimuleka Katonda wange, omwoyo ka gukwebaze.

3. Amawanga gonna mweyanzemwesiime musanyukire mu Katonda


ensi ye yonna eyimbe

Ng’eddiza Katonda ettendo erisukkiridde egambe nti:

4. Bisamaaliriza nnyo, bisamaaliriza nnyo by’Akola Katonda n’abalabe


bo ne bakusuuta
Olw’amaanyi go, oli wa buyinza.

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 5


5. Ensi yonna yonna ekusinze, ensi yonna yonna ekusinze, ensi yonna
yonna evunname ekusinze eyimbe erinnya lyo Mukama wange.
Oli wa buyinza oli wa buyinza nnynja yafuulibwa lukalu oli wa buyinza
oli wa buyinza
Oli wa buyinza twagusomoka omugga bigere bias oli wa buyinza,
ssebo oli wa buyinza
Fenna tweyagalira mu Ggwe

6. Oli wa buyinza, oli wa buyinza agafuga amayanja gonna,oli wa


buyinzaagafuga amawanga gonna oli wa buyinza abajeemu bave mu
kwepanka, ojja kubawemmenta tebaalutonde Mukama oli wa
buyinza.

7. Mmwe mugambe nti : Ddunda by’okola bya magero. Mubunyise


ettendo lye lisuffu.
Mujaguze mu Katonda. Yyee mumanyise wonna by’akozebisuffu.
Yyee muyimbire mmwe Katonda omwoyo gwangeyaguteekamu
obulamu, kigere kyange.
Ye yakigumya obutatagala.
Nnayingira ewuwo nnaayingira, nnaayingira ewuwo, nnaatambira.
Nnaatambira .
Mu nnyumba ya Kitange nayingira natambira n’ebyokye
nneevuddemu. Bye nneetema okutuusa nabyatula.
Bye nneetema ndayidde ndibituusa ,ndayidde ndibituusa ndayidde
ndibituusa Mukama wooli ng’ompanirira, ng’ompannirira.

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 6


NZE NADDIZA KI OMUKAMA

Chorus : //Nze naddiza ki Omukama? Ddunda


Nze naddiza ki Omukama? Ddunda
Nze naddiza ki Katonda wange?//

Ssirina…aa ssirina….aa ssirina…aa ssirina kyakuddiza Katonda


Wange!
Ssirina…aa ssirina.…aa ssirina…aa ssirina kisaanira Katonda
wange.

1. Ebirabo byange bye ndeese, gwe mugaati gwo Katonda wange


n’evviini
Bibe ekitambiro eky’obulamu.
Siima Mukama wange siima Mukama wange ebirabo byange bye
ndeese
Siima Mukama wange siima Mukama wange Ebirabo byange bye
nkuwadde.

2. Ekirabo kyange ekisinga kwe kukuddiza Omutima gwange n’obulamu


bwange
Nzenna mbeere wuwo.
Siima Mukama wange……………………………….

3. Obutume bwange ekyo kirabo kyo, Ggwe butukuze Katonda wange


Ne mu byenkola, njoleke ekitiibwa Kyo.
Siima Mukama wange………………………………..

4. Ggwe Katonda wange Nnyini byonna, mu kisa kyo kubagizanga


Abankuseere, ayi Mukama, bafune ebirungi byo.
Siima Mukama wange……………………………………..

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 7


NITAKWENDA MIMI MWENYEWE (I. NYANGA)

Chorus : Nitakwenda mimi mwenyewe nikatoe sadaka kwa Bwana

// Aliyeniumba mimi, aliyeniumba mimi, aliyeniumba mimi,

Mungu wangu , mungu wangu,

Kwa kuniumba hadi ni kapendeza//

1. Kaniumba kwa mfano wake, kuliko viumbe vingine,


Na sasa ni katoe shukrani.

2. Vyote nilivyo navyo ni vyake, nimurudishe kwa mapendo,


Na sasa nikatoe, shukrani.

3. Mema mengi amenijalia, ya mbiguni na duniani,


Na sasa ni katoe shukrani.

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 8


OMUGAATI GW’OBULAMU

Chorus : Omugaati gw’obulamu ogwava mu ggulu


Guugwo wuno Ye Yezu
Guugwo wuuno Ye Yezu
Ogw’abatambuze Ye Nnyini- bulamu
(Bonna): Yezu afuuse entanda

1. Tweyanzizza, ssebo Omulungi Yezu okutwewa Oyambye!


Tweyanzizza Oyambye!
Tweyanzizza ssebo okutwewa Ggwe.

2. Twesiimye nnyo ssebo Ggwe Owaffe Ssebo okutwewa Ng’ojja eno


Twesiimye nnyo Ewaffe
Twesiimye nnyo, Ssebo okuba naawe

3. Mmwe abayala nammwe abayonta nammwe abagonvu Mujje eno


Ewa Nnyini – bulamu Ye Yezu
Abakkuse nnyo nnyini abawe amaanyi.

4. Tukwesiga nnyo, Ssebo tutwale Ssebo Otutuuse Eka eyo


Gy’obeera Mu kitiibwa
Tukwesiga nnyo Ssebo tutuuse eyo!

5. Ewa Kitaawo, Ssebo, tutwale, Ssebo otutuuse Twesiime


N’abamutenda Mu kitiibwa
Ba nnaggulu, naffe nno tube mu abo

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 9


I AM THE BREAD

1. I am the bread of life, he who comes to me shall not hunger, he who


believes in me;
Shall not thirst, no one can come to me, unless the Father, draw him.

Chorus : And I will raise him up. And I will raise him up
And I will raise him up, on the last day

2. The bread that I will give is my flesh for the life of the world, and he who
eats of this flesh,
He shall live forever, he shall live forever.

3. Unless you eat of the flesh of the Son of man, and drink of His blood, and
drink of His blood,
You shall not have life within you.

4. I am the resurrection, I am the life. He who believes in me,


Even if he dies, he shall live forever.

5. Yes lord I believe, that You are the Christ, the Son of God, who has come
into the world.

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 10


NDISIIMISA KI NZE OMUKAMA

Chorus : Ndisiimisa ki Omukama ? Ndisiimisa ki Omukama?


Olw’ebirungi by’ampadde atyo, by’ampadde atyo?

Ka nkwaate ekikompe eky’obulokofu nkowoole, nkowoole,


nkowoole ,nkowoole
Erinnya ly’Omukama.

1. Nnalimu okwesiga ne bwe nnagamba nti: nze nga ndabye


nnyo!
2. Nze nnatya ne ŋŋamba nti: buli muntu mulimba bulala.
3. Naddiza ki Omukama? Olwa byonna bye yampa!
4. Nja kuddira ekikompe eky’obulokofu, nkowoole erinnya
ly’Omukama.
5. Bye nneetemye mu maaso g’Omukama nja kubituusa,
ng’eggwanga lyonna liri awo.
6. Kwa muwendo mu maaso g’Omukama, okufa kw’abatuukirivu
be.
7. Ayi Mukama nze ndi Muweereza wo, nze ndi muwereza wo,
mwana wa muzaana wo, Ggwe wasumulula envuba zange.
8. Nja kukutambirira ekitambiro eky’okukutenda, nkowoole
erinnya ly’Omukama!

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 11


KATONDA YEEBALE
Chorus : Katonda yeebale yeebale nnyo!
Katonda yeebale yeebale.

Nja kumwebazanga emirembe gyonna, nja kumwebazanga obuteddiza!

1. Obulamu bwe nnina ku nsi kuno buli ku bwani,


Ayi Mukama Ggwe abumpa ndikwebaza ntya?
Essanyu lye nnina ku nsi kuno liri ku bwani,
Ayi Mukama Ggwe alimpa ndikwebaza ntya?

2. Emyaka gye mmaze ku nsi kuno giri ku bwani,


Ayi Mukama Ggwe ankuumye ndikwebazam ntya?
Obugagga bwe nnina ku nsi kuno buli ku bwani,
Ayi Mukama Ggwe abumpa ndikwebaza ntya ?

3. Amaka ago ge ndimu ku nsi kuno gali ku bwani,


Ayi Mukama Ggwe agampa ndikwebaza ntya?
Abaana be nnina ku nsi kuno bali ku bwani,
Ayi Mukama Ggwe abampa ndikwebaza ntya?

4. Abazadde be nnina ku nsi kuno bali ku bwani,


Ayi Mukama nze omwana ndikwebaza ntya?
Emikwano gye nnina ku nsi kuno giri ku bwani,
Ayi Mukama ggweb ahimpa ndikwebaza ntya?

5. Ebyo bye nkoze ku nsi kuno biri ku bwani,


Ayi Mukama Ggwe ankuumye ndikwebaza ntya?
Entalo0 ze ngobye ku nsi kuno ziri ku bwani,
Ayi Mukama Ggwe annyambye ndikwebaza ntya?

6. Eddiini gye nsoma ku nsi kunon erim ku bwani,


Ayi Mukama Ggwe Ddunda ndikwebaza ntya?
Eggulu gye ndaga nga nfudde liri ku bwani ,
Ayi Mukama Ggwe Ddunda ndikwebaza ntya?

13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 12


13/01/2024 ST CECILIA CHOIR, MITYANA CATHEDRAL PARISH Page 13

You might also like